John 10

Omusumba Omulungi

1 “Ddala ddala mbagamba nti atayita mu mulyango ng’ayingira mu kisibo ky’endiga, naye n’alinnyira awalala, oyo aba mubbi era munyazi. 2 aNaye ayingirira mu mulyango, ye musumba w’endiga. 3 bEra oyo omuggazi amuggulirawo, n’endiga ziwulira eddoboozi lye, aziyita amannya gaazo n’azifulumya ebweru. 4Azikulembera ne zimugoberera, kubanga zimanyi eddoboozi lye. 5Omulala gwe zitamanyi, tezimugoberera, zimudduka buddusi kubanga tezimanyi ddoboozi lye.” 6 cYesu n’abagerera olugero olwo, kyokka bo, ebyo tebaabitegeera.

7Awo Yesu kyeyava ayongera n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nze mulyango gw’endiga. 8 dAbalala bonna abansooka baali babbi era banyazi, n’endiga tezaabawuliriza. 9Nze mulyango; buli ayingirira mu Nze alirokoka. Aliyingira, n’afuluma n’aliisibwa mu ddundiro. 10Omubbi ky’ajjirira kwe kubba n’okutta n’okuzikiriza. Nze najja, zibe n’obulamu, era zibe nabwo mu bujjuvu.

11 e “Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw’endiga. 12 fOmupakasi, atali musumba, endiga nga si zize, bw’alaba omusege nga gujja adduka n’aleka awo endiga, omusege ne guzirumba ne guzisaasaanya. 13Akola atyo kubanga mupakasi, so n’endiga tazifaako.

14 g “Nze ndi musumba mulungi, n’endiga zange nzimanyi era nazo zimmanyi. 15 hNga Kitange bw’ammanyi, era nga nange bwe mmumanyi, bwe ntyo bwe mpaayo obulamu bwange olw’endiga. 16 iNnina n’endiga endala ezitali za mu kisibo kino, nazo kiŋŋwanidde okuzireeta, era nazo ziriwulira eddoboozi lyange, endiga zonna ne ziba ekisibo kimu era ne ziba n’omusumba omu. 17 jKitange kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize. 18 kTewali n’omu abunzigyako, wabula mbuwaayo lwa kwagala kwange. Nnina obuyinza okubuwaayo, era nnina obuyinza okubweddizza. Ekyo Kitange ye yakindagira.”

19 lYesu bwe yayogera bw’atyo, empaka mu Bayudaaya, ne zisituka buto. 20 mBangi ku bo ne bagamba nti, “Aliko dayimooni oba si kyo alaluse. Lwaki mumuwuliriza?”

21 nAbalala ne bagamba nti, “Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni asobola okuzibula amaaso ga bamuzibe?”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

22Mu Yerusaalemi mwalimu embaga ey’Okutukuza, era bwali budde bwa butiti. 23 oYesu yali mu Yeekaalu ng’atambula mu kifo ekiyitibwa Ekisasi kya Sulemaani. 24 pAwo Abayudaaya ne bamwetooloola ne bamugamba nti, “Olituusa ddi okutubuusisabuusisa? Obanga ggwe Kristo kale tubuulirire ddala.”

25 qYesu n’addamu nti, “Nababuulira dda naye temukkiriza. Ekikakasa ebyo gy’emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange. 26 rNaye mmwe temunzikiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange. 27 sEndiga zange zitegeera eddoboozi lyange, era nzimanyi era zingoberera. 28 tNziwa obulamu obutaggwaawo, era tezigenda kuzikirira. Tewali n’omu ayinza kuzisikula mu mikono gyange, 29 ukubanga Kitange yazimpa, era ye tewali amusinga maanyi, noolwekyo tewali asobola kuzisikula kuva mu mukono gwa kitange. 30 vNze ne Kitange tuli omu.”

31 wAwo Abayudaaya ne bakwata amayinja okumukuba. 32Yesu n’abagamba nti, “Mwalaba ebyamagero bingi Kitange bye yankozesa, kiruwa ku ebyo kye musinziirako okunkuba amayinja?”

33 xNe bamuddamu nti, “Tetukuvunaana lwa birungi by’okola wabula lwa kubanga ovvoola; ggwe oli muntu buntu naye weeyita Katonda.”

34 yYesu n’abaddamu nti, “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti, Katonda yagamba nti, ‘Muli bakatonda’? 35Obanga abo abaweebwa ekigambo kya Katonda, yabayita bakatonda, ate ng’Ebyawandiikibwa tebidiba, 36 zate Nze, Kitange gwe yatukuza n’antuma mu nsi, lwaki mugamba nti avvoola kubanga ŋŋambye nti, Ndi Mwana wa Katonda? 37 aaObanga sikola ebyo Kitange by’ayagala nkole, kale temunzikiriza; 38 abnaye obanga nkola by’ayagala, newaakubadde Nze temunzikiriza waakiri mukkirize ebyo bye nkola mulyoke mutegeere nti Kitange ali mu Nze, era nange ndi mu Kitange.” 39 acAwo ne bagezaako nate okumukwata, kyokka ne yeemulula.

40 adN’addayo emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yasooka okubatiriza, n’abeera eyo. 41 aeAbantu bangi ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Yokaana teyakola byamagero, naye buli kimu kye yayogera ku muntu ono kyali kya mazima.” 42 afBangi ne bamukkiririza eyo.

Copyright information for LugEEEE